Kampala | 20 November 2026: Ebya Susan Kushaba, eyali Chairperson wa Owino Market, tebikyali birungi.
Kkooti ya Buganda Road emugaanye bail ku Lwokutaano. Kino kitegeeza asigala ku remand okutuusa luvannyuma.
Chief Magistrate Ritah Neumbe Kidasa yagambye nti court teyamatizibwa nti bwanaaba afulumiziddwa, tajja kuddamu kukola ebyo by’amuvunaana oba okutaataaganya obujulizi.
Lwaki Court Emugaanye Bail?
1. Sureties baali nnafu.
Kushaba yaleeta sureties babiri bokka, naye court yagambye assurances zaabwe tezaali za maanyi kumala kulaga nti ajja kugoberera conditions za bail.
2. TikTok account ekyali active.
Omusango guzingiramu TikTok account emu egigambibwa nti ebadde ekozesebwa okumala emyezi nga 10, okuva mu January okutuuka mu October 2026. Court yagambye tewali bujulizi nti account eyo yaggalawo.
3. Banne bakyali bweru.
Abalala abakwatibwa mu musango guno bakyali bweru, era basobola okukyusa oba okusangulawo obujulizi obuli ku digital.
4. Teyakola undertaking yonna.
Kushaba teyawa court kiragiro kyonna oba plan nti tajja kuddamu kufulumya bintu ebyo ebimuvunaana.
Naye Magistrate yategeezezza bulungi:
“Okugaana bail si kibonerezo. Kushaba akyali innocent okutuusa luvannyuma nga kkooti emusingisizza omusango.”
Kushaba avunaana emisango esatu egy’okuweereza false distress signals wansi wa Uganda Communications Act. Yegaanye emisango gyonna.
Kati kiki ekiddako?
Asobola okuddamu okusaba bail, naye ateekwa okuleeta sureties ab’amaanyi era n’okulaga court engeri gy’anaalemesamu okuddamu okukola ebyo by’amuvunaana.
Court era yalagidde prosecution okwanguya okunoonyereza, kubanga tewali muntu alina kusigala ku remand ebbanga liwanvu nyo nga musango tegunnawulirwa.
Kati, Susan Kushaba asigala ku remand.
Olowooza ki? Court yakola bulungi okumugaana bail? Gamba ffe mu comments.

